Bya Samuel ssebuliba.
Oluvanyuma lw’okutibwa kw’omubaka we Arua Ibrahim Abiriga, tutegeezeddwa nti kati ababaka abamu batandise okutya,nga bagamba nti batambulira mukufa.
Twogedeko n’ababaka okubadde ow’e Gulu municipality’s Lyandro Komakech, owe Kitigum municipality Beatrice Anywar n’owe Kapiribyong Julius Ochen, nnebagamba nti kati batambula bamagama olwokutya okukubwa amasasi.
Bano bagamba nti kitutte ebanga nga abattibwa basubuzi,kko n’abakuuma dembe, wabula kekituuse kubanabyabufuzi , kati nabo banandiise kutya, era nga bali kubunkenke.