Bya Ruth Anderah.
Omuvubuka ow’emyaka 20 agambibwa okusobya ku muwala ow’emyaka 19 kyadaki avunaniddwa nadizibwaayo mu komera e Luzira.
Mugula Dan ng’abadde ku alimanda e Luzira okuva mu September wa 2014 okutuusa kati, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Stephen Nsubuga mu kooti enkulu omusango nagwegaana.
Kigambibwa nti Mugula ono omukazi yamusobyako nga September 17th 2014 ku luguudo Salaama Makindye division wano mu Kampala.
Kati omulamuzi Nsubuga alagidde adizibweyo mu kkomera e Luzira okutuusa June 13th lwanadizibwa omusango gutandike okuwulirwa.