Ssebuliba samuel.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni asabye banna- uganda okukoma okutwala ekitta bantu nga omutawaana ogw’abakuuma dembe bokka, wabula kino kiwendo ekyetaaga okufaayo kwabuli munna- uganda.
Bweyabadde ayogerako eri abakungubazi mukuziika omugenzi Ibrahim Abiriga eyabaddde omubaka we Arua municipality, president yagambye nti okuwangula abatemu bano tekyetagisa kuyiwa nkuyanja y’amajje, wabula banna- uganda olutalo luno balina okulwenyigiramu nga bafuuka bambega okuwa police amawulire gonna gebalabye agayinza okuyamba okukwata abatemu bano.
Wabula ono agamba nti okutuukiriza kino, waliwo okw’erumya okulina okutekebwawo, gamba nga okukendeeza pokopoko, nga kwogasse n’okukoma ku banamawulire abamala googera buli kyasanze kku by’okwerinda