Skip to content Skip to footer

Abazigu bayingiridde omubaka Nakabira

nakabira
File Photo:Omubaka Nabirah

Poliisi ye  Kinoni mu district ye Lwengo ekyanonyereza ku bazigu abatanategerekeka abaalumbye amaka g’omubaka omukyala owa disitulikiti eno Gertrude Nakabira nebakuliita n’ebiwerako.

Okunonyereza kwa poliisi okusoose kulaze nga abanyazi bano bwebabbye ebiwandiiko bya kkooti  omubaka Nakabira byakozesa ku musango gweyawawabira eyamuwangula mu kalulu Hajji Muyanja Mbabaali.

Nakabira agamba webameneyedde enyumba ye y’abadde ali mu lukiiko ku ekeleziya ,nga era alumiriza abamuvuganya okuluka olukwe lw’okumubba.

Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Ibin Ssenkumbi akakasizza obunyazi buno n’ategeeza nga okunonyereza bwekukyagenda mu maso ku nsonga eno.

Leave a comment

0.0/5