Dr Kiiza Besigye kyaddaaki atuuse e Rukungiri.
Ono awerekeddwa abagoba ba bodaboda n’oluseregende lw’emotoka abaamulindidde ku lutindo kwe Kahengye
Bano bazze begattibwaako abawagizi abalala
Kebisoni, Buyanja ne Nyakibale.
Ng’atuuka e Buyanja, abantu bamweyiyeeko abalala nebayiika mu luguudo era bano amaze kwogera nabo okukkakkana.
Ekibuga kye Rukungiri kisiibye kya blue ng’ebipande biri buli wamu ate nga waliwo n’abantu abasazeewo okwesiiga laangi ya Blue okulaga obuwagizi.
Dr Besigye abadde awerekeddwaako loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago, Ibrahim Semujju, Gen. Mugisha Muntu ne Nandala Mafabi.
@@@@@@@@@@@