Eyesimbyeewo ku lulwe ku bwa pulezidenti Prof Venansius Baryamureeba agambye nti amangu ddala nga yakawangula obwa pulezidenti, wakuwa gavumenti z’ebitundu obuyinza .
Baryamureeba agamba nti kino kiyamba nako okugatta abantu n’okukomya okulwanirira obukulu.
Ng’ayogerako eri abantu be Busaana, Prof Barya agambye nti gavumenti z’ebitundu nga zikulembeddwa abakulumbeze b’ennono zikola nnyo ku byenkulakulana okusinga okussa obuyinza wakati.
Ono agambye nti n’entalo ezaaliwo nga ssabasajja Kabaka agaanibwa okugenda e Bugerere tezandilabiseeko ssinga waliwo obukulembeze bw’ebitundu
Ono wabula era eno gy’asinzidde okulangirira nti tajja kuddamu kuwenja kalulu okutuuka nga bamuwadde emotoka n’abakuumi.