
Poliisi efulumizza enteekateeka y’eby’okwerinda nga bw’enabeera mu kaseera kano ak’okuyigga akalulu.
Eggwanga lyonna litemeddwaamu ebifo 34 nga bakulondoolwa abapoliisi abakutuddwaamu ebibinja 27
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti ebitebe by’okwerinda byebataddewo byakubaako abakola ku by’okwerinda okuva mu bitongole ebitali bimu okulaba nti akalulu kaba ka mirembe.
Ono agambye nti nga kampeyini zinyinyitidde, ab’eby’okwerinda bano bakutandika okulabika mu bantu