Skip to content Skip to footer

Abasuubuzi bakuggala amaduuka

Abasuubuzi mu kibuga kampala balangiridde nga bwebagenda okuggala amaduuka gaabwe ssabbiiti ejja.

Abasuubuzi bano basisinkanyeemu olwaleero nebategeeza nga bwebaludde nga beemulugunya ku nsonga y’emisolo egibabinikibwa ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kyokka nga teri abanyega.

Bano balonze akulira bannekolera gyange, Gideon Badagawa okukulemberamu entesegayanga ne gavumenti kyokka nga ssinga bigaana, teri kubuusabuusa bakwekalakaasa nga baggala amaduuka gaabwe okumala ennaku ttaano.

Bano era baweze nti mu nnaku zino ettaano, tebaggya kutegana kuwa misolo.

Yye akulira abasuubuzi bano Everest Kayondo agambye nti nabo bajja kufiirwa kyokka basazeewo bino mu bulumi obususse kubanga bakooye okwogera nga teri abawuliriza.

 

Leave a comment

0.0/5