Gavumenti eweze abatembeeyi mu bifo paapa gy’agenda okuyita bw’anaaba akyadde mu Yugana ku nkomerero y’omwezi guno
Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, ebimu ku bifo paapa mw’agenda okuyita kwekuli Munyonyo, e Namugongo ne Nalukolongo.
Minisita akola ku guno na guli Tarsis Kabwegyere agambye nti basazeewo okuwera abatembeeyi mu bifo bino olw’ensonga z’eby’okwerinda
Kabwegyere agambye nti tewali mutembeeyi yonna agenda okukkirizibwa mu bifo bino yadde okubiriraana.
Ono era agambye nti okuyoyoota ebifo bino kugenda mu maaso era ng’ebulayo ssabiiti emu paapa atuuke, buli kimu kijja kuba kiwedde