Skip to content Skip to footer

Kipoi oluvanyuma lwokumukomyawo avunaniddwa

Bya Ruth Anderah

Eyali omubaka wa Bubulo West mu palamenti Tonny Kipoi Nsubuga olwaleero avunaniddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ento e Nakawa nasindikibwa mu kkomera e Luzira.

Ono asomeddwa emisango egyekuusa ku kukusa abantu 20 okuva mu district ye Bukedea okubatwala ku muliraano mu gwanga lya DR. Congo.

Kipoi aleteddwa mu maaso gomulamuzi Jamson Karemani amusindise ku alimanda okutuusa nga March 16th 2018 lwanakomezebwawo okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirrwa kutandike.

Kipoi avunanibwa nabakugu mubya computer 2, Silas Opejo ne Patrick Engorit wabulanga bano tebabaddeewo olwaleero mu kooti, naye kooti nebayisaawo ekibawnadiiko ebibayita.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ann Ntimba abavunanwa 3 emisango bajizza mu April wa 2013 mu district ye Bukedea.

Kinajjukirwa ku lwomukaaga lwa wiiki ewedde, Kipoi yakomezebwawo okuva mu gwanga lya Botswana gyeyakwatibwa ku misango gyobufere, bweyali yeyita omusawo wekinansi.

Leave a comment

0.0/5