Bya Abubaker Kirunda.
Wano e Jinja waliwo omuvubuka wa myaka 22 attidwa nga ensonga yakubba mbuzi.
Ono okutibwa abadde agenze ku kyalo Namwendwa wano Butagaya okubayo embuzi okubba , okukakana nga abatuuze bamukutte , ekidiridde kubadde kumutta.
Aduumira police ye Kiira North Henry Magarura agamba nti ono oluvanyuma lw’okumukuba bagezezaako okumudusa mu dwaliro e Buwenge , wabula nafiira mukubo.
