
Nga pulezidenti Museveni yetegeka okulayizibwa ku kisanja ekirala, ab’ekibiina kya DP bamukubye akaama nti nga bweyetegekera olunaku lwenkya, alowooze neku ky’okulangirira olunaku lw’agenda okuwummula.
Nampala w’ekibiina kya DP era omubaka wa kalungu East Joseph sewungu ategezezza nga ekya pulezidenti Museveni obutata buyinza bwekivuddeko obuvuyo mu ggwanga.
Ssewungu agamba pulezidenti Museveni ave mu kutya ategeze eggwanga ddi lwanawummula kitegerekeke .
Anyonyola nti singa pulezidenti Museveni atuukiriza kino, ababaka b’oludda oluvuganya tebaggya kuba nakyakusalawo okugyako okulinda olunaku lw’anaaba abategezezza.