Poliisi ye Bundibugyo etandise okusengula abantu okuva mu bifo ewabumbulukuse ettaka omwafiiridde 13.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Rwenzori Lydia Tumushabe, poliisi ekolagana n’abekitongole ekiddukirize ekya Red Cross okuva mu municipaali ye Bundibugyo, n’egombolola lye Bukonjo okubatwala mu nkambi ye Bugukwanga camp n’ewalala ewatali kubumbulukuka kwa ttaka.
Agamba abantu 150 bebabadde baakwatwalibwa mu nkambi eno.
Olunaku lw’eggulo ettaka lyaziise ebyalo 3 nga 6 ku bafudde baabadde ba nyumba emu sso nga n’abalala bakyapoocca.