Skip to content Skip to footer

Cholera yakatta omu e Butaleja

cholera

 

Ekirwadde kya Cholera  kyakatuga omuntu omu mu disitulikiti ye Butaleja.

Akulira ebyobulamu mu disitulikiti eno Dr John Matovu eyafudde y’omu ku bantu 35 abatwaliddwa mu ddwaliro lya Nabiganda Health centre IV.

Agamba okuva ku Easter banji bakwatiddwa Cholera era nebaweebwa ebitanda ngeyasooka okuleetebwa bamugya mu tawuni ye Nabiganda.

Dr Matovu anyonyodde nti bataddewo ekifo ekyenjawulo webakuumira abalina cholera ono okwewala okusasanira mu bitundu ebirala.

Wabula agamba Cholera ono avudde ku bukyafu obuyitiridde ngabantu batono abalina kabuyonjo.

Leave a comment

0.0/5