Bya Kyeyune Moses.
Ssentebe w’akakiiko akalera edembe ly’obuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights commission Meddy kaggwa asabye parliament okwanguwa okukola ku teeka erinaakuma abantu ababa bawadde obujulizi mu misango egimu, bakome okutya.
Kaggwa okwogera bino abadde mu kakiiko akaatekebwawo okunonyereza ku by’okusobya ku baana b’amasomero.
Ono agamba nti abaana bangi abayise mu mbeera nga eno batya okuvaayo okuwa obujulizi, kubanga mpaawo nkola yonna eyinza kubakuuma, kale nga kino kiyinza okutuukirira singa eteeka litondebwawo.
Ono mungeri yeemu agambye nti tewali na teeka ely’enjawulo eritaasa abaana okusobezebwako nga bali mu masomero , kale nga ayagala eteela elya Education act 2008 nalyo likyusimbwemu.