Bya Ruth Anderah.
Kooti enkulu eriko omukyala ow’emyaka 29 gwesindisemu komera e luzira okumala emyaka 27 lwakuvuga motoka nakoona mujjawe n’amutta.
Hadijah Namyalo Lutaaya abadde mu maaso g’omulamuzi Jane Frances Abodo namukaliga emyaka 27 n’emyezi 11 , bwakizuuse nti yatta eva Ndagire ow’emyaka 27 nga 23rd -September 2014 e Wakiso.
Ono okumusalira omusango omulamuzi yesigamye kubujulizi obwaletebwa maama w’omwana eyaffa omukyala Josephine Nakirija , nga ono ategeezeza kooti nti nga March 2014 yalumba omugenzi n’amugamba nti singa taave ku mubaawe, agenda kumutta.
Kati wano kooti wesinziidde okukikakasa nti ono kituufu yakozesa emotoka ekika kya pajero okukakana nga akoonye Ndagire n’amutta.
Kati ono omulamuzi amulagidde egire nga aberako e Luzira.