
Abakulembeze b’abagoba ba Taxi wansi w’ekibiina ekirwanirira eddembe lyaabwe balayidde okugenda mu maaso n’okwebuuza ku ba dereeva ku bizibu byebasanga
Bano olwaleero lwebasoose okugezaako okukikola kyokka nebalumbibwa ekibinja ky’abantu abatanaba kutegerekeka abalwanye okukkakkana nga basatu bayiika musaayi.
Aba Taxi bagamba ekibinja kya Yassin Sematimba kyekikoze akavuyo nga bagaala bakwatibwe
Mu kavuvungano akabaddewo mu malya g’ekyemisana, n’omubaka w’abakozi Sam Lyomoki abadde awerekeddeko ba dereeva akwatiddwa