
Omusumba w’abalokole Job Enawule Olusegun owa Rescue Mission Church e Wandegeya Kimwanyi zone akubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakugaana kulabirira mwana gweyazaala ebbali w’obufumbo.
Pasita Enawule nga munansi wa Nigeria asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku City Hall Moses Nabende.
Gyebuvudeko omusumba ono yawakanya ebyava mu ndaga butonde eyakolebwa wano mu Uganda eyali eraga nti omwana ono ow’obulenzi nga kati ow’omwaka ogumu n’emyezi esatu yali wuwe bwoya , era n’asaba kkooti emuwe olukusa akole eyiye mu ggwanga lya South Africa.
Wabula nayo ebivuddeyo biraze nti omwana wuwe naye n’akomba kupaasi ng’agamba nti byabulimba ye yegadangako ne maama w’omwana ono Robinah Nadugu omulundi gumu era nga takkiriza nti yamufunyisa olubuto.
Kati omusango gutandise okuwulirwa mu kkooti ya city Hall era maama w’omwana n’asaba kkooti eragire pasita Enawule amuliyire obukadde bwensimbi 25 olw’okumwonoonera ebiseera bye.
Omulamuzi Nabende omusango ogwongezezzaayo okutuusa nga 18th omwezi ogujja.