Bya TomAngulin
Ekitongole ekikola ku byokubunyisa amasanyalaze ekya UEDCL kitegeezeza nga ebeeyi y’amasanyalaze bwegenda okukakana singa esundiro ly’amasanyalaze elya Isimba linatandika okukola sabiiti ejja.
Twogedeko ne kitunzi wa company eno Johnson Amanya naagamba nti mubanga lya mwaka gumu ebeeyi y’amasanyalaze yakukakana, era kino kyakuyamba nyo enkulakulana okweyongera mu gwanga.