Bya Samuel ssebuliba.
Wetwogerera nga okusabira omugenzi Dr Livingstine Mpalanyi Nkoyoyo kugenda mu maaso wali kukiggwa ky’abajulizi e Namugongo.
Okusaba kuno kwetabidwako abantu ab’enjawulo okutandikira ku ssabalabirizi we kanisa ya uganda Stanly Ntagali, omulabnirzi eyawumula Henry Luke Orombi, katikiro wa Buganda Charlse peter mayega, ssabaminister wa uganda Ruhakana Rugunda, omumyuka wa Presiident Kiwanuka ssekandi, muft wa uganda Shaban Mubajje, suprem Muft Siliman Ndirangwa, Dr Col kiiza Besigye kko nabalala.
Mukwogera, omulabirizi w’obulabirizi bwe Namirembe Kityo Luwalira amwogedeko nga omusajja abaddde yawaayo obulamubwe okuwereza omukama.
Ate ye akulira ekifo Rev Cano Henry Ssegawa amwogedeko nga abadde empagi luwaga mukukulakulanya Namugongo, era nga okumuziika e Namugongo kikaoze amakulu.