Skip to content Skip to footer

Bamukutte lwakuwamba baana

Bya Abubaker Kirunda

Police e Kamuli eriko omusajja wa myaka 34 gwegalidde, ku byekuusa ku kuwamba abaana babiri.

Omukwate mutuuze we Bukaibale mu gombolola ye Balawoli mu district ye Kamuli.

Ssentebbe we kyalo Buyinza Isabirye ategezeza nti omukwate abadde yaggalira abaana mu nnyumba ye okuli, owemyaka 7 nowemyaka 10 nekigendererwa ekitanaba kukakasibwa.

Abaana bano, babadde banonyezebwa oluvanyuma lwabazadde baabwe okuddukira ku poliisi.

Leave a comment

0.0/5