Bya Andrew Bagala
Poliisi eriko omusajja gwekutte ateberezebwa okutta, omuyimbi Moses Sekigobo abadde amanyiddwa nga Mozey radio.
Okusinziira ku Rwamusaayi Frantile omuddumizi wa poliisi ye Katwe, Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troyi yakwatiddwa okuva e Kyengera mu nnyumba ya mukwano gwe gwe gyabadde yekukumye.
Poliisi egamba nti yatemezeddwako, abatuuze.
Ono yakwatiddwa natwalibwa ku poliisi ye Katwe gyeyakoledde statement oluvanyuma nebamwongerayo Entebbe gyagaliddwa, ngokunonyererza kukyagenda mu maaso.
Omuyimbi Mozey Radio amawulire gokufa kwe galangirirwa ku lunnaku Lwokuna wiiki ewedde oluvanyuma lwokufuna obuvune, mu kulwanagana okwali mu bbaala Entebbe.