Ssebuliba samuel
Omuloodi w’eKibuga Kampala Erias Lukwago ayambalidde ebitongole eby’okwerinda okufayo enyo okuyigga abakyamu abatta abantu mu gwanga.
Ono abadde mukusabira omwoyo gw’omugenzi Moses Ssebogo wali ku lutiiko e Rubega emisaana galeero n’ategezza nga obumenyi bw’amateka bwebususse enyo kyoka bibala biva mu kunonyerezza.
Ono agamba nti abantu bangi battidwa mutundutundu lya Masaka ,Wakiso,wamu nebitundu byegwanga kyokka okunonyerezza okukolebwa tekufulumizibwa.
Kati ye ssabawandiisi w’ekibiina ekiri mubuyinza ekya NRM Justine Kasule Lumumba ategezezza nga gavumenti bwekoola enyo okulaba nga egwanga libeeramu emirembe