Bya samuel ssebuliba.
Abayimbi okuli Joseph Mayanja ne mugandawe Douglous Mayanja amanyiddwa nga weasel bakulukusizza amaziga bwebabade boogera ku mugenzi mu lutiko e Lubaga.
Mukwogera Dr Jose Chameleon agambye nti yaabade omuwagizi wa mowzey Radio namba emu, kubanga ono yamumanya nga tanatandika nakuyimba.
Yye weasel wakati mukukulukusa abaziga agambye nti baali beesubiza ye nemunne bwebawangadde obulamu bwabwe bwonna nti baakuyimba ensi eyanamire, era kino babade bakituukirizza.