
Munnakisinde kya Go Forward nga yesimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga Amama Mbabazi asazizzamu enkungaana ze mu disitulikiti y’e Buvuma.
Mbabazi abadde wakukuba enkungaana 2 olumu e Buvuma ne Buikwe nga kati asigazza Buikwe wokka.
okusinziira ku nteekateeka empya Mbabazi wakukuba olukungaana lwe olusooka ku kisaawe kya UEB mu tawuni ye Njeru wabula nga abadde tanasimbula kuva mu makage e Kololo.
Olukungaana lwe olukulu lwakukubibwa wali ku Mayors gardens e Luzira mu Buikwe West.