Bya Ritah Kemigisa.
Omubiri gw’omugenzi eyaliko ssabawolereza wa government Peter Nyombi leero gwakuletebwa ku Parliament asiimibwe ebirungi byeyakolera egwanga.
Nyombi ono yafa ku lunaku lwa Sunday wano ku SAS Clinic – Bombo Road,oluvanyuma lw’okugwirwa ekirwadde ekyamangu
Omuwandisi wa Parliament omukyala Jane Kibirige, atubuulide nti omulambo gwa Nyombi gwakubeera ku parliament okutandika ku saawa 10:00 AM, ate olw’eggulo wategekebwewo olutuula olw’enjawulo okujukira musajja mukulu ono.
Ono yafiiriidde ku myaka egy’obukulu 64 , oluvanyuma lw’okukola nga omuworereza wa government okumala emyaka 3 nga adda mu bigere bya Prof Kiddu Makubuya.