Bya Ruth Anderah.
Nate n’olwaleero emusuubuzi w’emotoka Muhammad Ssebuufu wakudda mu kooti yewozeeko kubigambibwa nti yetaba mukutta omukyala Betty Donnah Katushabe nga ensonga zaava ku banja ely’obukadde 9 lyeyali amubanja.
Kinajukirwa nti mu October 1st 2018 , omulamuzi wa kooti enkulu aguli mu mitambo Flavia Senoga yeetegereza obujulizi obwaletebwa abajulizi 26 naakakasa nti Ssebuufu alina kyatekeddwa okunyonyola kooti kunzitta y’omukyala ono, kko nebanne abalala 8 baavunaanibwa nabo.
Obujulizi obuliwo bulaga nti omukyala ono eyattibwa yali yagula emotoka okuva mu kibanda ekya Pine ekyali kidukanyizibwa ssebuufu nasasulako obukadde 5 zokka, kale bweyalemwa okusasula obukadde 9 obwasigalayo ssebuufu nga ali nebanne nebamukuba okutuusa okumutta.