Bya samuel Ssebuliba.
Wano ku muliraano mu gwanga lya Kenya agavaayo galaga nga abantu 42 bwebafudde nga kino kidiridde bus ebadde eva e Nairobi okudda mu Kisumu okuggwa ku kabenje mu kitundu kye Fort Ternan .
Aduumira police ye Kericho James Mogera agambye nti bus eno etuuza abantu 67 yavude kuluguudo neggwa mu lukonko metre nga 20 okukakana nga abantu 42 bafudde.
Akabenja kano kabaddewo ku saawa nga kumi neemu ez’okumakya, wabula nga abafudde akadde konna bayinza okweyongera.