
Nga ebula ennaku munaana okutuuka ku lunaku lw’akalulu, abantu abawerako basimbye enyiriri empanvu okuva ku makya nga balinda okuweebwa endagamuntu zaabwe.
Mu Kira town council abasinga bagumidde akasana wabula nga zigabibwa kasoobo nga era abamu betwogeddeko nabo bagamba okuva enkoko bweyakokolimye nga bali awo balinze wabula nga tebanafuna kyabaleese.
Wabula abagaba endagamuntu zino batutegeezezza nti obyuma bikalimagezi byebakozesa bikola mpola kale nga nabo mpaawo kyebayinza kukolera basimbye nyiriri okugyako okulinda.
Minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga y’aggye okuba endagamuntu zino ku zi disitulikiti n’ezizza ku miluka okwanguyiza bannayuganda okuziddukira wabula nga kikoma wiiki eno.