Skip to content Skip to footer

Omusolo omupya ogwa mobile money gutandika nkya okukola

Bya Samuel Ssebuliba.

Minisitule ekola ku by’ensimb ekakasizza nga enongosereza ezaakolebwa mu teeka lya mobile money bwezigenda okutandika okukola olunaku olwenkya.

Kinajukirwa nti nga 2nd October palamenti  yakola enongosereza mu teeka lino okukakana nga  omusolo ogwa enusu 1% gugidwawo neguzibwa 0.5%.

Kati bwabadde ayogerako eri parliament leero minister David Bahati agambye nti  eteeka lino enkya lyakutekebwa mu kyapa, kale nga mubwangu dala lyakutandika okukola enkya.

Ono agamba nti tewabadeewo kulwa,eteeka president yalisaako omukono, kale nga kano keekade okutandika okukola.

 

Leave a comment

0.0/5