Skip to content Skip to footer

Polisi ezudde emotoka 20 okuva ku banyazi.

Bya Samuel Ssebuliba.

Police etegeezeza nga bwekutte abantu kumi na mukaaga  kko n’okuzuula emotoka 20 ne bodaboda 2 nga zino zibadde zabibwa mu bitundu byegwanga ebyenjawulo.

Omwogezi w’e kitongole ekikesi Vicent ssekate agamba nti ekikwekweto kino kyakoleddwa mu bitundu omuli Kampala Iganga, Mbale n’ewalala nga kino kyatandika mu mwezi guno.

Ono agambye nti e Mbale  baazudeyo emotoka mukaaga  abantu 4 nebakwatibwa,e Iganga  baazudeyo emotoka 4 , wano mu kampala bajeewo emotoka 8 n’okukwata abantu 8 , songa ne luweero bajeeyo abateberezebwa okubeera abanyazi babiri.

Ssekate agamba nti kino kikoleddwa okutebenkeza egwanga mu kaseera kano akaamazuukira ekasemberedde.

Leave a comment

0.0/5