Bya Ben jumbe.
Abavuganya government basekeredde minister akola guno naguli AlHajji Abdul Nadduli, nga ono balunze kubawaayira nga bwebakulembedemu ebikolwa ebyokuwamba kko n’okutta government.
Olunaku olw’eggulo omukulu ono bweyabadde ayogerako ne banamawulire yagambye nti abavuganya govenment bebateeka ensimbi mu kabinja akeeyita aka Popular Striking Force akasinziira e bwaise nga bano bebawamba, kko n’okutta abantu mu kampala wano
Ono teyakomye awo yagambye nti ensonga zaabano mpanvu kubanga balina n’ebibiina ebiri ebunayira ebibawa ensimbi okukola emirimo gino.
Kati mukwanukula omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti ebigambo bya Nadduli temuli nsa, kale nga banna- uganda bagwana babitwale nga eby’olubalaato.