Bya Ivan Ssenabulya
Gavumenti ye gwanga lya Zambia ewadde omubaka we gwanga lya Cuba ambassador Nelson Pages Vilas ennaku 7, okwamuka egwanga lyabwe.
Vilas yanyizizza gavumenti bweyetabye mu kutongoza ekibiina kyebyobufuzi ekya Socialist Party, ekikulemberwa Fred M’membe, eyali munamwulire neyesogga ebyobufuzi.
Ono yakubiddwa ebifananyi nga yetabye ku mukolo gwokutongoza ekibiina ekivuganya gavumenti, kyebagamba nti kiri wabweru wenkolagana.
Kati omukulembeze we gwanga lya Zambia Edgar Lungu yagambye nti ambassador alina okubaviira, kubanga yetabye mu byobufuzi.