Bya Benjamin Jumbe
Aboludda olvuganya gavumenti bebali emabega we ttemu mu kibuga nokuwamba abantu.
Minister atalina mulimu gwa nakalalira Alhajji Abdul Nadduli yalumirizza bwati, nti waliwo abe bweru abatekamu ensimbi era bebakolagana nabo, okunafuya gavumenti.
Bwabadde ayogera ne banwmulire mu Kampala, Nadduli agambye nti waliwo akabinja akatondedwawo e Bwaise, akafuuse akomutawaana okutukiriza ebigenererwa bino.
