Bya Ivan Ssenabulya
Ekibiina kya DP kikungubagidde Winnie Madikizela-Mandela, eyafudde olunnaku lwe ggulo ku myaka 81.
Bwabadde ayogera ne banamwulire mu Kampala Kenneth Paul Kakande ayogedde ku mugenzi ngomulwanirizi we ddembe kayingo, eyawakanya obusosoze ne bbaawe, omukulembeze we gwanga lya South Africa, omuddugavu eyasooka Nelson Mandela.
Kati asabye abakyala mu Uganda okutwala omukyala Winnie Mandela, ngekyokulabirako okuwakanya obutali bwenkanya ngokutemula nokubawamba.
