Skip to content Skip to footer

Aba DP bagala tteeka kuba Crime Preventers

Bya Ivan Ssenabulya

File Photo : Kakande nga yogeera

Abantu abenjawulo bavuddemu omwasi, oluvanyuma lwomukulembeze we gwanga okulangirirra entekateeka okutongoza abziyiza ku bumenyi bwamataeeka ba crime preventers ngegye ezibizi, nga baliw wansi wa UPDF.

Kati abekibiina kya Democratic Party, bawabudde nti wetagisaawo etteeka okulungamya okuberawo kwa bano, nemirimu gyabwe.

Akulira ebyamawulire mu kibiina kya DP Kenneth Paul Kakande alabudde nti mu kaseera kano tewaliiwo tteeka, nga byonna ebikolebwa biri wabweru wamateeka.

Ono era alabudde nti bano bebatekawo okuziyiza obumenyi bwamateeka enfunda nnyingi ngate benyigira mu kumenya amateeka.

Kakande era alabudde gavumenti obutamala gasasanya nsimbi ku bantu bano kubanga tealaiiwo mu mateeka.

Leave a comment

0.0/5