Bya Damali Mukhaye
Omubiri gw’omugenzi John Ssebaana Kizito gutuusiddwa wali ku City hall.
Omulambo gwaniriziddwa loodi meeya Erias Lukwago wamu nebakansala abenjawulo nga era essaawa yonna wakubeerawo olutuula lwa kanso olwenjawulo okujjukira ebirungi ebikoleddwa omugenzi John Ssebaana Kizito eyaliko meeya wa Kampala.
Ssebaana y’afa nga July 3 ku ddwaliro lye Nakasero gyeyatwalibwa nga ali mu mbeera mbi nga June 19.
Nampala wa ganumenti Ruth Nankabirwa agamba palamenti yakuyimiriza entuula zaayo ezenjawulo okujjukira omugenzi.
Oluvanyuma nga omubiri gw’omugenzi gujiddwa mu palamenti, gwakutwalibwa ku kanisa ya Sir Apollo Kivebulaaya Church of Uganda e Kansanga.
Ku lwokutaano wakubeerawo ebitambiro by’emmisa ku kanisa ye Namirembe nekukizimbe kye ekya Sure House nga era ssabassumba w’essaza ekkulu erye Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga yewokukulemberamu .
Ku lwomukaaga Ssebaana wakuziikibwa ku kyalo Mpande mu disitulkiti ye Luweero.
Wabula nammwandu Christine Namiiro Kizito yandisubwa okuziika bba kubanga ali ku ndiri mu ggwanga lya Bungereza.