Bya Dmali Mukhaye.
E Makerere agavaayo galaga amyuka akulira etendekero lino,Prof Barnabas Nawangwa bwaliko abayizi basatu baagobye nga bano abalanze kwetaba mu bikolwa eby’okwekalakasa songa bimenya mateeka.
Ono wandiise ebaluwa naagiwaako n’akulira eby’okwerinda Enoch Abeine, era nga abayizi abagobeddwa kuliko Obbo Johnson ,Frank Bwambale ne David Musiri, nga bano kati balagiddwa okwamuka makerere mu bwangu.
Kati bano bawezeza omuwendo gwabayizi 11 abaakagobwa olwokwekaaksa nga bawakanya eky’okwongeza ebisale byabayizi.