Obululu bw’abesimbyewo ku bwapulezidenti n’obubaka bwa palamenti busuubirwa okutuuka mu ggwanga olunaku lwenkya.
Obukonge buno bwakubiddwa mu ggwanga lya South Africa nga era kuliko n’abakyala abanakiikirira disitulikiti mu palamenti.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu agamba nti bakakafu nti obululu buno bwakutuuka mu mirembe era abantu tebasaanye kubeera na bweralikirivu.