Skip to content Skip to footer

Bannayuganda boogedde ku myaka gya pulezidenti

 

Bannayuganda 76% tebaagala kuwuliza byakujja kkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga 75 gy’alina okuwummulirako.

Bino birabikidde mu alipoota eyavudde mu kunonyereza okwakoleddwa ab’ekibiina kya Afro Barometer nga bakunganya ebirowoozo kun kola ya palamenti wamu n’ensonga  z’ebyokulonda.

Mu bikungyaniziddwa okuva mu bantu 1200, bannayuganda 89% bawagira eky’okuggula emisango ku bakungu b’akakiiko k’ebyokulonda wamu n’abakuuma dembe abazimuula amateeka g’ebyokulonda.

Bbo bannayuganda  84% bawagira enteeseganya wakati wa gavumenti n’ab’oludda oluvuganya gavumenti, 94%  baagala asangibwa nga yajingirira empapula z’obuyigirize aleme kukkirizibwa kuddamu kwesimbawo nga bbo 66%  tebaagala mubaka wa palamenti ate akole nga minisita.

Bw’abadde asoma alipoota eno, omukanaganya w’ekibiina kya Afro Barometer Francis Kibirige abaakoze okunonyeerza kuno , ategezezza nti okunonyereza kuno kwakolebwa wakati wa Decdember 26 December ne nga 8 January 2017.

Leave a comment

0.0/5