Skip to content Skip to footer

Omusomesa asobezza ku muyizi

Bya Abubaker kirunda

Police ye Iganga eriko omusomesa wa Primary gwegalidde ku bigambibwa nti yasobezza ku kawaala akemyaka 14.

Omukwate musomesa ku ssomero lya King David P/S e Buniro mu ggombolola ye Nawaninde nga kigambibwa ono akwatiddwa lubona nga akaana kano akagagambula obumuli.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi akakasizza okukwatibwa kw’omusomesa ono.

Agamba poliisi ekyanonyereza era oluvanyuma omukwate wakutwalibwa mu kooti avunanibwe.

 

Leave a comment

0.0/5