Bya Ivan Ssenabulya
Abayisiraamu mu gwanga basabidwa nti bongeremu amaanyi okukola ebinabaweesa empeera, mu mwezi guno omutukuvu ogwa Ramathan.
Obubaka buno vuvudde wa ssentebe wa Uganda Quran schools Association Shiekh Ahmada Yahaya Lukwago, ngabasabye okweyambisa omwezi guno okukyusa embeera zaabwe.
Mungeri yeemu, abayisiraamu basabiddwa okusiiba nobumalirivu, obutasiiba kabandabe.
Buno bubadde bubaka bwa Shiekh Dr Rashid Yahayah Ssemuddu.