
Abakozi mu bikajjo bya Metha e Buikwe balayidde nti bakulonda abakulembeze abanakwata ku nsonga ezibaluma.
Bagamba basasulwa bubi atenga ettaka lyabwe balibatwala mu mankwetu, naye gavumenti mpaawo
kyekoze okubayamba.
Bino byebigambo byebategeeza banabyabufuzi
abatalaga eno nga babanonyamu obululu nti atabitunulemu teri kalulu.
Kidiridde Dr. Lugudde Nabatanzi okutalaaga mu bitundu bye Bikajjo ngasaba abeeno obululu.
Ono naye akiriziganyizza nembeera yabantu nti ssi nnungi nakamu era gavumenti etekwa okubaako kyekola okulongoosa
embeera yabakozi ewa Metha nemu makolero amalala mu gwanga.