
Omubaka we Lwemiyaga Theodore Ssekikubo aweze okulwanyisa obulyake mu mu kibiina kye ekya NRM.
Ssekikubo okwogera bino abyogeredde ku mukolo gw’okumwaniriza okudda mu kibiina kya NRM ogwabadde mu katawuni ke Ntusi mu disitulikiti ye Ssembabule.
Ssekikubo agamba ekibiina kya NRM okusigala nga kyamaanyi kilina okuleka bamemba okwanja abavumaganya ekibiina n’okubaleka okwogera ku bitagenda bulungi mu kibiina.
wabula Ssekikubo y’atabukidde abaagala okumusimbako omuntu mu kamyufu ku kifo ky’obubaka n’ategeza nga mpaawo amwesimbamu ayinza kumuwangula.