Abantu bana beebafudde mu kwekalakaasa okuggya okubaluseewo mu ggwanga lya Burundi
Kiddiridde omukulembeze ali mu ntebe Pierre Nkurunziza okutegeeza nga bw’ajja okwesimbawo ku luno kyokka nga eby’ekisanja ky’okuna yabivuddeko
Yye omuwagizi wa gavumenti abadde atinkiza bamukumyeeko omuliro ate ng’avuganya gwebakubye essasi ku mutwe
Omukago gw’amawanga ga Africa gwegasse klu America okusba Nkurunziza okuva ku by’okwesimbawo
Abantu kati 17 beebakafiira mu kwekalakaasa kuno