Abayizi be Makerere 3 abagambibwa okutta eyali muyizi munaabwe David Ojok baddiziddwaayo e Luzira.
Kiddiridde oludda oluwaabi okutegeeza omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda road Pamela Ocaya nti okunonyereza ku nsonga eno kukyagenda mu maaso.
Abasatu kuliko Ivan Mutungi, Marvin Atukwase ne Derrick Wagooli nga balabiseeko mu kooti okumanya okunonyereza ku musango gwaabwe wekutuuse
Kati gwongezeddwaayo okutuuka nga 19 omwezi guno lwebanadda mu kkooti
Oludda oluwaabi lugamba nti bano nga basinziira ku kisulo kya Nkrumah bagwiira Ojok nebamutta nga bamulanga okubeera omubbi.