Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bwewaliwo abantu abefuula abakozi b’akakiiko k’ebyokulonda nebabuuza abantu ebibakwatako ku nsonga y’endagamuntu.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kigundu agamba ekigendererwa kyabano tekinategerekeka wabula bandiba nga baagala kugotanya kulonda kw’omwezi ogujja.
E Mukono poliisi eriko omusajja gw’ekutte oluvanyuma lw’okusangibwa nga abuuza abasuubuzi ebibakwatako.