Bya Getrude Mutyaba.
E kalungu abatuuze bakedde kukaawa ,okukakana nga bakide omu kubasibe abaatoloka mu kaduukulu ka kooti e masaka nebamutta.
Attidwa ye Muhammad Galiwango nga ono abadde nemunne Musa-Kidawalime.
Bano okutibwa babade bagezaako okumenya enju yomutuuze ku kyalo mukoko, wabula abatuuze bwebakubye enduulu, nebatandika okumukuba okukakana nga bamusse.
Ye munne Musa Kidawalime aduse wabula kakano police emuyiga.
