Skip to content Skip to footer

Kooti eyimirizza okulonda kwe Bugweri

Bya Abubaker Kirunda

Kooti enkulu e Jinja eyisizza ekiragiro ekiyimiriza okulonda kwa ssentebbe wa district ye Bugweri, okubadde kutegekeddwa olwaleero.

Akakiiko kebyokulonda kabadde kalagidde nti ssentebbe alondebwe muba kansala 13 aba district eno empya eyekutulwa ku Iganga.

Bano babadde balagiddwa bakungaane ku kitebbe kya town council e Busesa okwerondamu ssentebbe kubanga tewali ssente.

Wabula waliwo abalonzi 2 e Bugweri okuli Yoweri Musasizi ne Steven Balya Baliruno abawakanyizza entekateeka eno mu kooti.

Bano baayise mu munamateeka wabawe Shaka Dhakaba owa Muziransa advocates nebasaba nti okulonda kubeewo mu bbanga lya myezi 7.

Kati ba knsala okubadde Charles Maganda owa NRM ne Grace Okurut owa FDC babadde bazze okulondebwa, bakotokedde busa era babalagidde baddeyo.

Leave a comment

0.0/5