
Poliisi kyaddaaki eyimbudde omuwagizi wa Mbabazi owomukibiina ky’abavubuka abeyita abaavu ab poor youth .
Ekitongole kya poliisi ekya Flying Squad ky’akwata Andrew Kaggwa wiiki ewedde ku lwokusatu n’atwalibwa ku kiteba kyabambega ba poliisi e Kireka.
Okusinziira ku mukwanaganya w’ekibinja ky’abavubuka bano Richard Kirekyankuba , Kaggwa ayimbuddwa amakya galeero awatali musango gwonna gumuguddwako.
Kirekyankuba agamba munne Kaggwa ali mu mbeera nungi nga mu kiseera kino ali ne famile ye mu zooni ye Kimwanyi.